Abantu abasukka mu 10 bali mikono gya Poliisi mu Kampala ku misango gy’okwenyigira mu kutabangula okulonda olunnaku olw’eggulo okwa Gavumenti ez’ebitundu.
Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, okulonda kwatambudde bulungi ddala kyokka abakwattiddwa waliwo abasangiddwa nga benyigira mu kubba akalulu, okugulirira abalonzi ssaako n’okutaataganya okulonda.
Onyango agamba nti abakwate bagiddwa Katwe, Makindye, Makerere ne Salaam Road era bali ku Poliisi y’e Katwe ne Wandegeya.
Abamu ku bakwate kuliko Juma Rhamudan, Bright Lubega era fayiro z’emisango gyabwe gyakusindikibwa eri omuwaabi wa Gavumenti okuwabula Poliisi ku misango egibaguddwako.

Eddoboozi lya Onyango