Kyaddaki Nancy Kalembe Linda, omukyala yekka eyabadde mu lwokaano mu kuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino avuddemu omwasi kwebyo, ebiyinza okuba nga byamulemeseza okwata enkasi okulembera eggwanga lino.

Mu bantu 11 abaavuganyiza, munna NRM Yoweri Kaguta Museveni yawangudde n’obululu obusukka mu bukadde 5 ate Kalembe yamalidde mu kyamunaana (8) nga yafunye obululu 37,469.

Wabula Kalembe bw’abadde awayamu naffe agambye nti, obutafuna kadde kamala okutambula mu ggwanga lyonna n’ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye okubalemesa okutuuka mu bitundu ebimu, y’emu ku nsonga enkulu lwaki yalemeddwa okuwangula.

Mungeri y’emu agambye nti Kampeyini n’okulonda tebiyinza kulaga nti Uganda yafunye okulonda okw’amazima n’obwenkanya newankubadde bannayuganda basukkiridde okuyaayanira enkyukakyuka.

Kalembe

Kalembe mungeri y’emu agambye nti ekya Gavumenti okuggyako yintanenti n’emikutu miggata bantu omuli Whatsapp, Facebook n’emirala, ebyalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda bikyaliko akabuuza.

Agamba Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama, alina okuvaayo okutegeeza eggwanga, engeri gye yali afunamu ebyava mu kulonda mu ggwanga lyonna.