Ebipya byongedde okuzuuka ku mukyala eyakwattiddwa ku misango gy’okutta mukyala munne n’okubba omwana akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Nakanyike Anita nga mutuuze we Wakiso mu ggoombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, yakwattiddwa ku by’okutta neyiba we Carolyn Nakiguli okusobola okubba omwana we.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Herbert Kambugu, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo omugenzi Nakiguli yabadde agenze kukyaba nku mu ffaamu y’omukyala Hajat Bagala mita 500 okuva ku kyalo Wakiso ne muwala we myaka 8 nga ku mugongo alinako omwana mwezi gumu, kalibutemu Anita kwe kumulumba.

Nakanyike Anita
Nakanyike Anita

Anita yanyodde Nakiguli ensingo namutta ate muwala we ku myaka 8, yamukubye nasigala ng’ali mu mbeera mbi, kwe kudduka n’omwana omuto omwezi gumu.

Omwana ku myaka 8 wadde yakubiddwa, olw’azze engulu yasobodde okuba enduulu eyasombodde abatuuze era amaaso gatuukidde ku mulambo.

Wabula Poliisi yasobodde okuzingiza Anita era yakwattiddwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku kizinga kye Mityana mu ggoombolola y’e Mazinga mu disitulikiti y’e Kalangala n’omwana mu ngalo.

Wabula 100. 2 Galaxy FM, bw’ebadde ewayamu n’akulira Poliisi y’e Mazinga Kakuuta Rodger, agambye nti okunoonyereza kulaga nti Anita abadde yalimba muganzi we ategerekeseeko erya Ssentongo nga bwe yamuzaalidde omwana oluvanyuma lw’okumulimba olubuto.

Poliisi egamba nti Anita yabadde alina okubba omwana okumutwalira Ssentongo era kigambibwa, omwana yabadde wakusaddakibwa.

Kakuuta

Ate ssentebe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Mazinga Sunday Gerald Kayita, agamba nti Anita yasangiddwa ng’aliko akacupa k’amazzi, mwatadde amata, okunyweza omwana eyabadde akaaba olw’enjala.

Kayita era akaatirizza nti omwana yabadde wa kusadaakibwa.