Kyaddaki Yunivasite y’e Makerere erangiridde nti sabiti ejja, abayizi abapya lwe batandiika okuyingira ku yinivasite.
Ku ntekateeka efulumiziddwa, abayizi abapya abayitibwa ba ‘freshers’, balindiriddwa ku yunivasite okuva sabiiti ejja ku Lwomukaaga nga 30, omwezi guno ogwa Janwali, okubateekateeka okumala sabiiti namba, okutuusa nga 5, omwezi ogujja Ogwokubiri.
Okusinzira ku Alfred Masikye Namoah, akulira ebyenjigiriza ku yunivasite y’e Makerere, semisita esooka yakutandiika mu butongole nga 6, Ogwokubiri, 2021 eri abayizi bonna omuli abapya ssaako n’abakadde okutuusa nga 8, Ogwokutaano, 2021.
Masikye alaga nti abayizi, bakuweebwa wiiki emu yokka okuwumulamu okuva nga 8, Ogwokutaano, 2021 okutuusa nga 15, Ogwokutaano, 2021, baddemu semisita ey’okubiri okuva nga 15, Ogwokutaano, 2021 okutuusa nga 14, Ogwomunaana 2021.
Ate eri abayizi abali mwaka ogusembayo abalindiridde okutikibwa, amatikkira ag’e 71 gaakutandika okuva nga 16, Ogwokusatu okutuusa nga 19, Ogwokusatu, 2021.
Kinnajjukirwa nti yunivasite zaggalwawo, omwaka oguwedde ogwa 2020 mu Gwokusatu wakati mu kulwanyisa Covid-19 era nga tusemberedde okumalako omwaka, abayizi abali mwaka gwabwe ogusembayo, bakkirizibwa okuddamu okutambuza emisomo gyabwe.