Kampuni ya MTN esambaze ebyogerwa nebiri mu kutambula ku mikutu egy’enjawulo, abantu okwetekateeka nga buli muntu yenna agenda okuggyayo ssente ku ssimu, ateekeddwa okuba ne ndaga muntu.

Okusinzira ku biri mu kutambula, okuva nga 1, omwezi gujja Ogwokubiri, omuntu yenna okweyambisa Mobile Money ya MTN, alina okuba ne ndaga muntu nga kikoleddwa okutangira abafere abasukkiridde okubbira abantu ku massimu.

Wabula John Mark Sebunnya, akulira ebya tekinologye mu Kampuni ya MTN, agambye nti omuntu yenna okuggya ssente ku ssimu, alina okuba nga yewandiisa ate Kampuni erina obusoobozi okusigaza likodi ku ntambula ya ssente era okusaba Ndaga Muntu, sikikulu mu kiseera kino.

Ssebunya One

Mungeri y’emu agambye nti okuteeka mu nkola abantu okweyambisa Ndaga muntu, abantu abeyambisa amassimu okutambulizaako ssente, bagenda kwesala, ekigenda okutaataganya ebyenfuna by’abantu abamu, emirimu ssaako n’emisolo okwesala.