Kkooti enkulu mu Kampala eragidde ebitongole ebikuuma ddembe okwamuka amaka ga Pulezidenti w’ ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso.

Bannamateeka ba Kyagulanyi, baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Micheal Elubu nga bagamba nti okuva nga 14, omwezi guno ogwa Janwali, Kyagulanyi ne Mukyala we Barbie Itungo Kyagulanyi, oluvanyuma lw’okulonda mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga n’abo abanaakiika mu Palamenti, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye byabasibira mu maka gaabwe mu ngeri emenya amateeka.

Mu kkooti, omulamuzi Elubu alagidde Poliisi n’amaggye okwamuka amaka ga Kyagulanyi kyokka bw’aba alina emisango, baddembe okumukwata okumutwala mu kkooti okusinga okumusibira awaka ate nga si kkomera.

Ensala y’omulamuzi Elubu esomeddwa omuwandiisi wa kkooti Jameson Karemani ekiwadde bannakibiina kya NUP essanyu.

Oluvudde mu kkooti, bannamateeka ba Kyagulanyi nga bakulembeddwamu George Musisi ne Kalule Fredrick Robert baaniriza ensalawo y’omulamuzi.

Munnamateeka Musisi ne Kalule

Mungeri y’emu n’omwogezi w’ekibiina ki NUP Joel Ssenyonyi asabye ebitongole ebikuuma ddembe ebyasimba amakanda ewa Kyagulanyi, okuwa ekitiibwa ekisaliddwawo kkooti.

Ssenyonyi agamba nti ebitongole ebyo, birina emirimu egy’enjawulo omuli okulwanyisa abazzi b’emisango okusinga okudda mu kola ebitagasa ggwanga.