Poliisi mu ggwanga erya Nigeria ekirizza nga bw’eri mu kunoonya bamukwata mmundu abenyigidde mu kuwamba abaana 6 mu kibuga Abuja.

Abaana bawambiddwa okuva maka, agalabirira abatalina mwasirizi akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga.

Poliisi etegezezza eggwanga nti abaana abatwaliddwa bali wakati w’emyaka 10 ne 13 era nga waliwo n’abatuuze 3 abatwaliddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi, okunoonya bamukwata mmundu kukyagenda mu maaso ssaako n’okunoonyereza lwaki benyigidde mu kutwala abaana.

Kigambibwa abatujju b’akabinja ka Boko Haram, bebenyigidde mu kutwala abaana newankubadde tebannaba kuvaayo kwewaana.