Abantu musanvu (7) kati z’embuyaga ezikunta nga bafiiridde ku nnyanja Nnalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria nga busasaana enkya ya leero.

Abafudde, basimbudde ku kizinga kye Lwanabatya mu ggoombolola y’e Kyamuswa mu disitulikiti y’e Kalangala okwolekera ku kizinga kye Kasenyi e Ntebbe wabula eryato lyabise nga bali ku mazzi nga kigambibwa likubiddwa omuyaga.

Ku lyato kubaddeko abantu 9, era abafudede kuliko abakyala 4 ssaako n’abaana 3.

Okusinzira ku batuuze, abafudde kuliko aboluganda Gloria Amito, Grace Amito, Irene Amiya ate abaana bali wakati w’emyaka 2 kwe 4.

Ku bantu 9, 2 abasimatuse okufiira mu kabenje k’eryato kuliko Lawrence Nzage ne Patrick Lubulwa oluvanyuma lw’okweyambisa ekidomola ssaako ne Ttanka y’amazzi okuwuga.

Oku mu benganda Ronald Sagala, agamba nti abamu ku bafudde babadde bagenda Masindi ate abalala mu disitulikiti y’e Nebbi.