Gavumenti mu ggwanga erya Mali ewadde ebiragiro buli ssomero okusomesa abayizi ku ngeri y’okwetangira Covid-19 okumala eddakika 20 buli musomesa lwayingira mu kibiina.

Olunnaku olw’eggulo, amassomero gazeemu okusomesa abayizi oluvanyuma lwe bbanga nga abasomesa bekandaze ne bateeka wansi ebikola lwa Gavumenti okulemwa okuyambako amassomero n’ebyetaagisa wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Wabula Gavumenti esobodde okubakwasizaako era abasomesa basabiddwa abayizi bonna okwambala masiki, okunaaba mu ngalo nga bayingira mu ssomero ne kibiina ssaako n’okwewa amabanga.

Gavumenti era esuubiza okusindiika abakungu ku buli ssomero, okulaba engeri gyebateeka mu nkola engeri z’okwetangira obulwadde.

Mali yakazuula abalwadde abali mu 8,000 ate abaakafa 323.

Abasomesa basabye Gavumenti okuwa amasomero ebintu byonna n’okusingira ddala Masiki eza bayizi wamu n’abasomesa.