Bya Nalule Aminah

Munnakibiina kya National Unity Platform-NUP Paul Mugambe awangudde obwa Meeya Nakawa ate Ali Kasirye Nganda Mulyanyama nga naye munnakibiina kya NUP, alangiriddwa nga Meeya wa Makindye.

E Nakawa, Mugambe afunye obululu 32,754 okumegga munna NRM Bruhan Byaruhanga Mugisha afunye obululu 20,671.

Munna FDC Daniel Muwonge Mugwanya afunye obululu 3,301, Martin Mwagale abadde yindipendenti 1,385, Florence Mungi Namata 2,179 ate munnakibiina kya JEEMA Muhammad Katende 1,278.

Mugambe olulangiriddwa ayogeddeko naffe era agambye nti ensonga y’okuyonja Nakawa gy’egenda okutandikirako.

Ate e Makindye Ali Kasirye Nganda afunye obululu 56,743 nga munna NRM Bob Robert Muhumuza afunye obululu 13,105.

Abalala Moses Kirumira Karungi munnakibiina kya DP afunye obululu 4,393, Ali Ahmed Zikusooka owa JEEMA 1, 420 ate munna FDC David Tigatoola Sabuka obululu 1,332.

Ate mu Kampala munnakibiina kya NRM Salim Saad Uhuru awangudde obwa meeya, ekiwadde bannakibiina essanyu.

Okusinzira ku birangiriddwa akulira eby’okulonda mu Kampala Central, Doreen Musiime nga busasaana enkya ya leero, Uhuru afunye obululu 13,114 ate munnakibiina kya NUP Hamudan Kigozi Semugoma amalidde mu kyakubiri n’obululu 10,654.

Uhuru oluvanyuma lw'okulangirirwa
Uhuru oluvanyuma lw’okulangirirwa

Abadde meeya wa Kampala, munna DP Charles Musoke Sserunjogi akutte kyakusatu n’obululu 5,318, Patrick Mugisa 2,095, Lameck Sewanyana 820.

Munna FDC Isah Ssemaganda 531, George Wakula 312, Isaya Kavum 166, Emmanuel Tebajjukira avuddeyo ng’afunye obululu 76.

Uhuru oluvanyuma lw’okuwangula, agambye nti musanyufu nnyo okuba nga NRM ewangudde ekifo mu Kampala.

Uhuru okuwangula, kabonero akalaga nti ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni alina amaanyi mu Kampala era asobodde okulemesa aba NUP ne Pulezidenti waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuwangula obwa Meeya bwa Kampala.