Ababaka 7 bebakavaayo okulaga nti betegese okuvuganya ku ky’okumyuka sipiika wa Palamenti oluvanyuma lw’okulondebwa okudda mu Palamenti y’eggwanga.

Ku kya sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga alaga nti alina okuddamu okwesimbawo kyokka ne Jacob Oulanyah abadde omumyuka we agamba nti naye akyetaaga.

Ate ku ky’okumyuka sipiika wa Palamenti kuliko omubaka we Budama North Jacob Oboth-Oboth, Omubaka omukyala we Bukedea Anita Among, Omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko, Ruhinda North Thomas Tayebwa, Gomba West Robinah Rwakojo, Theodore Ssekikubo, okuva e Lwemiyaga ne Minisita omubeezi ow’ebyensimbi David Bahati.

Okusinzira ku ntekateeka, Palamenti erina okulonda sipiika n’omumyuka we mu May, 2021 oluvanyuma lwa babaka abapya okulayira.

Ku lunnaku Olwomukaaga nga 30, Janwali, 2021, ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayise akabondo ka NRM era kigambibwa ensonga y’okulonda sipiika erina okuteesebwako ssaako n’ensonga ya NRM okuwangula ennyo mu bitundu bya Buganda mu kulonda okwaliwo nga 14, Janwali, 2021.