Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alaze lwaki ebyavudde mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga tayinza kubikkiriza newankubadde, tebannaba kufundikira ntekateeka za kuddukira mu kkooti.
Mu kulonda okwabaddewo nga 14 omwezi guno ogwa Janwali, munnakibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni yawangudde obukulembeze bw’eggwanga lino, n’obululu obusukka mu bukadde 5 ate Kyagulanyi yamalidde mu kyakubiri n’obululu obuli mu bukadde 3.
Agamba nti newankubadde okulonda, kwabaddemu abantu 11 era nga yamalidde mu kyakubiri, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama yakoze nsobi, okulangirira mukulu Museveni ng’omuwanguzi era bo tebayinza kubikkiriza.
Kyagulanyi, bw’abadde asisinkanyeko bannakibiina kya NUP abaawangudde ku bifo eby’enjawulo omuli abagenda okukiika mu Palamenti y’eggwanga, agambye nti ebyalangiriddwa tebayinza kubikirizza kyokka eby’okuddukira mu kkooti, okuwakanya ebyavudde mu kulonda, bakyabitesaako, okusalawo kye bayinza okuzaako.

Bobi Wine ku kkooti

Mungeri y’emu asabye bannakibiina kya NUP abawangudde obukulembeze ku buli mutendera, okusosowaza ensonga eziruma abantu okusinga okudda mu kulya patte.

Bobi Wine ku Mps

Ku nsonga y’ebitongole ebikuuma ddembe okusimba amakanda ku makaage okuva nga 14, omwezi guno, Kyagulanyi agamba nti bagenze okuvaayo nga balidde emmere ye kyokka tebayinza kumuggya ku mulamwa.