Minisita wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni w’obulimi n’obulunzi Vicent Bamulangaki Ssempijja aweddemu esuubi ly’okudda mu Palamenti, ng’omubaka we Kalungu East nga kivudde ku mulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka Charles Yeitesi okuyimiriza okuddamu okubala obululu.
Mu kulonda okwaliwo nga 14, omwezi guno, munnakibiina kya NUP Francis Katabazi Katongole yalangirirwa ng’omuwanguzi n’obululu12,198, nga Minisita Ssempija yamalira mu kyakubiri n’obululu 10,865.
Wabula Minisita Ssempijja agamba nti yafuna okutegeezebwa nti ba ‘Agent’ be, babalemesa okutuuka mu bifo ebirondebwamu, ekyavirako okukyangakyanga ebyali bivudde mu kulonda.
Bwe yagenze mu kkooti, yaloopye akulira eby’okulonda e Kalungu Ann Namatovu, munna NUP eyamuwangula Katabazi ssaako n’akakiiko k’ebyokulonda emisango gy’okunyaga obuwanguzi bwe.
Amangu ddala, omulamuzi Yeitesi yalagidde okuddamu okubala akalulu, akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande.
Wabula olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, omulamuzi yayimirizza okuddamu okubala akalulu nga kivudde ku bookisi ezaaleteddwa akulira eby’okulonda e Kalungu Namatovu, okusangibwa ng’emu teriiko siiru ate nga endala siiru zakyusiddwa, ekyatabudde bannamateeka ba Katabaazi nga bakulembeddwamu John Chrysostom Katumba era ne basaba, omulamuzi okuyimirizza okubala obululu.
Omulamuzi amangu ddala, yazzeemu okulangirira Katabazi ng’omubaka omulonde ow’e Kalungu East ekiwadde banna NUP essanyu.