Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu ayongezaayo emisango egivunaanibwa amyuka omuwandiisi wa Pulezidenti Yoweri Museveni ow’okulusegere Carolin Kembabazi ali ku misango gy’okulimba abakungu b’akakiiko k’ebyokulonda.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kembabazi ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze we Kireka mu Divizoni y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso, yasobola okweyambisa kifo kye ng’omuwandiisi wa Pulezidenti ow’okulusegere okulimba akakiiko k’ebyokulonda nti Museveni amulagidde, okulagira akakiiko k’ebyokulonda okuwa emirimu abantu 3 ate nga bonna baluganda lwe omuli Kenneth Magezi, Duncan Muramuzi ne Elia Abomeire okumyuka omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda.

Emisango yagiza wakati w’omwezi ogwa November n’omwezi guno ogwa December, 2020 ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala.

Wabula mu kkooti, omulamuzi Kamasanyu ayongezaayo omusango okutuusa nga 19, omwezi ogujja Ogwokubiri, nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Elizabeth Nadala okulemwa okuleeta obujjulizi ku misango egivunaanibwa Kembabazi.

Ate bo bannamateeka ba Kembabazi nga bakulembeddwamu James Muhumuza, bagamba nti bakyalinze obujjulizi ku misango egivunaanibwa omuntu waabwe ssaako n’ebikwata ku bajjulizi abagenda okweyambisibwa.