Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde abakulembeze abaalondeddwa, okusoosowaza ensonga z’abalonzi okusinga okudda mu kulwanagana n’okwesunga ebifo.

Kyagulanyi agamba nti newankubadde abakulembeze abalonde, tebannaba kulayira, bangi ku bo bali mu kwesunga kulondebwa ku bukulembeze obw’enjawulo mu offiisi gye bagenda okukikirira omuli Palamenti, City Hall ssaako ne ku disitulikiti.

Bwe yabadde asisinkanyeko abakulembeze mu Gavumenti z’ebitundu abaalondeddwa bannakibiina kya NUP omuli bakansala ba LC 5 ssaako ne meeya ba magombolola, yagambye nti okuteeka ku mwanjo ensonga ezinyigiriza abalonzi, kigenda kuyamba nnyo okuweesa NUP ekitiibwa ssaako naye ng’omuntu.

Kyagulanyi yasinzidde mu makaage Magere mu Tawuni Kanso y’e Kansangati mu disitulikiti y’e Wakiso akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano.

Bobi Wine ku bakulembeze

Ate bo bakansala balemeddeko nga bagamba nti Kyagulanyi  yawangula obukulembeze bw’eggwanga lino nga 14, Janwali, 2021 era bo tebasuubira kulayira okutuusa nga Kyagulanyi, akwasiddwa obuyiza.

Bakansala