Kkooti ya sseemateeka mu ggwanga erya South Africa eragidde eyali omukulembeze w’eggwanga Jacob Zuma nti ateekeddwa okweyanjula mu kakiiko k’abalamuzi akali ku ddimu ly’okulwanyisa n’okunoonyereza ku buli bw’enguzi.
Kkooti era egamba nti Zuma, alina okwanukula akakiiko ku nsonga z’okwenyigira mu kulya enguzi.
Kigambibwa Zuma yenyigira mu kubba ensimbi z’eggwanga mu kiseera ng’ali mu offiisi ng’omukulembeze w’eggwanga wabula emisango gyonna Zuma agyegaana.
Zuma singa yeyanjula mu kakiiko, ensonga zonna zagenda okwanukula, basobola okuzeyambisa mu kkooti okuvunaanibwa oba okwejjerezebwa.
Zuma myaka 78 yakulembera South Africa okuva nga 9, Ogwokutaano, 2009 okutuusa nga 14, Ogwokubiri, 2018.