Poliisi mu Kampala ekutte omusajja Deo Osombe myaka 42 ku misango gy’okutta namukadde Yusufu Mwebesa myaka 75 abadde omutuuze ku kyalo Lutengo mu Tawuni Kanso y’e Nakifuma-Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Geoffrey Kiiza, nga busasaana enkya ya leero Osombe ayingiridde omukadde okuba ssente zonna zeyabadde atuuse mu ttaka okwejjanjaba omusujja gw’ensiri.

Osombe afumise omukadde ebiso mu lubuto emirundi egiwerako, era omukadde bw’akubye enduulu, mutabani we Julius Mubiru ali mu gy’obukulu 13 asobodde okudda engulu, era naye asobodde okuba enduulu esoombodde abatuuze.

Omukadde Mwebesa akutukidde mu ddwaaliro Kayunga gy’abadde atwaliddwa wakati mu kutonnya omusaayi.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire agambye nti omutemu Osombe akwattiddwa era atwaliddwa ku Poliisi y’e Naggalama ku misango gy’obutemu.

Related Stories
BAMBI! Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by’emmotoka ya Bobi Wine, biwanvuye

Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by'emmotoka! Ebitongole ebikuuma ddembe omuli amaggye ga Uganda Read more

6 Busted For Robbing Chinese, Disguised As National Water Staff

3 Busted For Robbing Chinese Kampala Metropolitan Police has revealed that 6 suspected thugs behind Read more