Kkooti y’amaggye e Makindye eyongezaayo okuwuliriza okusaba kwa bannakibiina kya NUP kwebateekayo nga basaba okweyimirirwa okutuusa nga 8, omwezi guno Ogwokubiri.

Bano okuli Edward Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, omuyimbi Bukeni Ali amanyikiddwa nga Nubian Li ssaako ne banaabwe 47 bali ku misango gy’okusangibwa n’ebintu by’amaggye mu ngeri emenya amateeka.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 3, omwezi oguwedde ogwa Janwali, mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu mu divizoni ye Kawempe, abakwate basangibwa n’amasasi magazine 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka.

Kkooti ebadde ekubirizibwa ssentebe Lieutenant General Andrew Gutti oluyongezaayo omusango, kabiite wa Nubian, Mutoni Gloria ayunguse amaziga olw’okusubwa bba bukya akwattibwa.