Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kasambya mu disitulikiti y’e Nakaseke Bamukwata mmundu abatamanyiddwa nga bakutte emmundu 3 we basse omu ku batuuze ssaako n’okulumya abatuuze 3, mu kiro ekikesezza olwaleero.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah Isah Ssemwogerere, attiddwa ategerekeseeko erya Mayengo.
Poliisi egamba nti okunoonyereza kulaga abatemu baalumbye edduuka nga bakutte emmundu ne bateeka Mayengo ku mudumu gwe mmundu ne bamusaba okuggyayo ssente zonna.
Amangu ddala Mayengo yakubiddwa amasasi agaamutiddewo ate banne baasobodde okudduka n’ebisago.
Ssemwogerere agamba nti Bamukwata mmundu baatutte ssente obukadde obusukka 7, bodaboda ekika kya Bajaj era Poliisi etandikiddewo okunoonyereza.
Bino webigidde nga wakayita ennaku 3 nga Bamukwata mmundu basse abantu 2 ku kyalo Kimaga mu ggoombolola y’e Nabiswera mu disitulikiti y’e Nakasongola.
Abattibwa kuliko Christine Nakagwa ne Herbert Ssempijja era Poliisi ekyanoonyereza okuzuula abatemu.