Essanyu libugaanye abatuuze ku kyalo Kanyogoga mu disitulikiti y’e Kalangala, omutuuze eyabula sabiti ewedde ku Lwokusatu bwazuuliddwa nga tali mu mbeera nungi.

Andrew Lwanga asaangiddwa mu kibira kye Lutoboka ng’ali bwereere ng’ali mu mbeera mbi, ekiyungudde amaziga abamu ku abatuuze ate abalala, bafunye ku ssanyu olw’okusanga omuntu wabwe ng’akyali mulamu.

Abamu ku batuuze bagamba nti Lwanga yali agezaako okwetta akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri bwe yali yesudde mu nnyanja ku kizinga kye Lutoboka.

Betty Nabulesa, omu ku batuuze agamba nti Lwanga yabula okuva ku Lwokusatu era bangi ku batuuze babadde balowooza nti kati z’embuyaga ezikunta.

Nabulesa One Final

Ate Richard Mutanda, muganda wa Lwanga agamba nti esuubi ly’okusanga muganda wabwe nga mulamu libadde liweddewo olw’ennaku 5 ng’anoonyezebwa.