Kyaddaki maama w’omugenzi Moses Ssekibogo eyali amanyikiddwa nga Mowzey Radio, avuddemu omwasi ku nsonga z’omuzimu gwa mutabani we, okumutawanya, olw’okumuteekako Sapule ku kifuba bwe yali aziikibwa.

Okuva omwezi oguwedde, wabaddewo ebiyitingana ku mikutu migatta nti omuzimu gwa Radio gulemeddeko okumuzikula, okumugyako Sapule eyamuteekebwako, ekivuddeko bangi ku bannayuganda okusigala nga basobeddwa.

Wabula mu kujjukira nga bwe giweze emyaka 3 bukya Radio ava mu bulamu bw’ensi eno, maama Kasuubo Jane awanjagidde bannayuganda okweddako n’okomya okutambuza ebigambo eby’obulimba.

Maama Kasuubo Jane bw’abadde awayamu n’omusasi waffe, agambye nti Omugenzi Radio yali musajja munnaddini nnyo, nga musajja Mukatuliki, era tewali nsobi yonna yakolebwa jjajja we okumuteekako Sapule mu kumuziika.

Maama Kasuubo