Ekitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya ‘Amnesty International’ kisabye abakulu mu Gavumenti y’e Guinea okuvaayo okutegeeza eggwanga ku ngeri abakulembeze 4 okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti gye bafiiridde mu kkomera.
Abaafudde baakwattibwa, mu kwekalakaasa okwaliwo mu Gwokusatu omwaka oguwedde ogwa 2020 nga bawakanya okulonda, okuteeka enkyukakyuka mu sseemateeka, okuwa omukisa namukadde Alpha Conde myaka 82 okuddamu okwesimbawo.
Wadde sseemateeka yakyusibwa, Conde neyesimbawo mu kulonda okwaliwo omwaka oguwedde mu October era nawangula, abakulembeze abafiiridde mu kkomera, baali bawagizi b’ekibiina ekyakwata eky’okubiri ekya Union of Democratic Forces of Guinea.
Mu kwekalakaasa, ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abantu abasukka mu 400 nga n’okutuusa olunnaku olwaleero, bakyali makkomera nga n’emisango abamu tegimanyiddwa.
Wabula aba Amnesty International, bagamba nti engeri abakulembeze abo gye bafiiridde mu kkomera kukyaliko akabuuza era Gavumenti erina okuvaayo okutegeeza eggwanga ku kyavuddeko okufa kwaabwe ssaako n’emisango egivunaanibwa bonna abaakwatibwa.
Mu sseemateeka omuggya, omukulembeze w’eggwanga yenna mu ggwanga erya Guinea alina okulembera ebisanja 2 ku myaka 6 mu 6, era Conde agamba nti ebbanga eryasooka ng’ali mu ntebe okuva 2010 talibala, alina okwesimbawo ebisanja 2 bannansi okusalawo alina okubakulembera.
Ekisanja ekisooka, yakiwangudde mu October wa 2020.