Kyaddaki bannamateeka ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) basobodde okwasa bannakibiina kya NRM empaaba yaabwe, gye batutte mu kkooti ensukulumu nga bawakanya obuwanguzi bwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 14, omwezi oguwedde ogwa Janwali.
Kyagulanyi yaddukidde mu kkooti ku Mmande ya sabiiti eno, era mu kwemulugunya kwe yagambye nti okulonda tekwali mazima n’abwenkanya nga yanokoddeyo eky’ebitongole ebikuuma ddembe okumulemesa okuba Kampeyini, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Enkya ya leero, bannamateeka ba Kyagulanyi nga bakulembeddwamu Anthony Wameli, bakwasiza bannakibiina kya NRM nga bakulembeddwamu ssaabawandiisi w’ekibiina Justine Kasule Lumumba empaaba yaabwe ku kkooti enkulu mu Kampala nga NRM ekulembeddwamu bannamateeka aba Kiryowa Kiwanuka Advocates.
Ate Lumumba asabye bannakibiina kya NRM okubayamba okukuuma obuwanguzi bw’omuntu waabwe nga bavaayo okuwa obujjulizi mu kkooti kuba balina buli kiwandiiko ekyetaagisa okuwangula omusango.
Oluvudde mu kkooti, Wameli agambye nti balina obujjulizi okuwangula omusango n’okusuuza mukulu Museveni entebe.