Mu nsi y’omukwano, omukyala yenna okutuuka ku ntikko y’ensibuko y’essanyu n’okumusindikiriza okuddamu okwegatta.
Newankubadde abantu bangi benyigira mu kusinda omukwano, bangi balemeddwa okutuuka ku ntikko olw’obutamanya biteekeddwa kukolebwa.
Kati no Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, alambuludde engeri eziyinza okuyamba omukyala yenna okutuuka ku ntikko ssaako n’abasajja okuyamba abakyala okutukayo.

Ssenga Kawomera agamba nti okwenoonya kintu kikulu nnyo. Agamba nti omusajja oba omukyala olina okunoonya munno kuba kiyamba okumukyusa obwongo n’ebirowoozo okudda ku nsonga z’okwegatta.

Ssenga Kawomera agamba nti okutekateeka obwongo kintu kikulu nnyo kuba kiyamba nnyo okumuteeka mu muudu n’okufuna obwagazi.

Mungeri y’emu agamba nti okuteeka omukyala mu muudu, kiyamba nnyo okusumulula obusimu mu bitundu by’ekyama okwetegekera okwegatta ssaako n’okusembeza obwagazi.

Ssenga Kawomera agamba nti ebitundu by’ekyama birina okuzimba ne biwaga, ensulo ne ziggulira amazzi, okulaga omusajja nti ye ssaawa okutandiika emikolo.

Omusajja yenna omukwata mpola mu nsonga z’omukwano, alina okunoonya obulungi mukyala we kuba kiyamba nnyo okwongera ku bwagazi ate obwagazi gye bukoma okweyongera, kiyamba nnyo n’okutuuka mu bwangu ku ntikko.
Sitayiro mu kaboozi n’obunene bwa waaya si kikulu nnyo wabula okunoonya munno nsonga nkulu nnyo.