Poliisi y’e Masaka ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okusasaanya ebipande ebityoboola ekitiibwa kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Abakwattiddwa, basaangiddwa mu kibuga Masaka nga balina ebipande okuwandikiddwa obubaka obw’enjawulo omuli Pulezidenti Museveni musajja nakyemalira, alemeddwa okulwanyisa obwavu, okutyoboola eddembe ly’obuntu, okutumbula enjawukana mu ddiini, okwenyigira mu kutta abantu era nga bagamba nti ekimala kimala.

Mungeri y’emu bagamba nti ye ssaawa bannayuganda okuvaayo okuwakanya obukulembeze bwa Museveni.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Muhammad Nsubuga agambye nti Poliisi ekutteko 2 era batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Masaka.

Nsubuga agamba nti abakwate balina akabinja k’abantu abasukka mu 10 era Poliisi erina okunoonya abakyasigaddeyo.

Eddoboozi lya Nsubuga