Abadigize mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo boogedde ku ntekateeka ya Gavumenti okuggulawo ebifo ebisanyukirwamu omuli ebbaala, Kiraabu, Sawuna ssaako n’ebifo ebirala.

Gavumenti yaggala ebifo byonna ebisanyukirwamu mu March wa 2020 ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana wabula n’okutuusa olunnaku olwaleero, ebifo byonna bikyali biggale.

Ku lunnaku Olwokuna, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga, yagambye nti Gavumenti erina entekateeka okuggulawo ebifo byonna ebisanyukirwamu singa efuna eddagala ly’okulwanyisa Covid-19.

Mu kwogera kwa Pulezidenti Museveni, yagambye nti abatamiivu tebasobola kwewa mabanga era singa bakkiriza ebbaala okukola nga tewali ddagala, abantu bangi nnyo bagenda kufa Covid-19.

Wabula abadigize mu ssanyu, bagamba nti wadde ebbaala zikyali nzigale, balina esuubi nti Gavumenti singa efuna eddagala mu March oba April, 2021 ebbala bagenda kuziggula abantu okuddamu okulya obulamu.

Mungeri y’emu bagambye nti obulamu kikulu nnyo kyokka abamu basigadde bebuuza lwaki ebbaala ezimu zikyali nziggule ate ng’endala nziggale.