Abamu ku bazadde n’abasomesa batabukidde Gavumenti ku ntekateeka eyafulumiziddwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’abayizi okudda ku massomero.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku Lwokuna ekiro, yakkiriza abayizi okudda ku massomero wakati mu kulwanyisa Covid-19 kyokka baakuddayo mu biwagu era abagenda okusooka okuddayo be bali mu P6, S3 ne S5.

Pulezidenti Museveni agamba nti bagenda kusangayo bannaabwe abali mu P7, S4 ne S6 abali mu nteekateeka z’okukola ebigezo by’akamalirizo ebitandika omwezi ogujja Ogwokusatu.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni

Mungeri y’emu yagambye nti abayizi b’ebibiina ebirala basuubirwa okudda mu masomero nga bannaabwe abali mu bibiina eby’akamalirizo bamaze okukola ebigezo byabwe ebya PLE, UCE ne UACE.

Ate eri abayizi ba nasale, Pulezidenti Museveni yagambye nti wadde abazadde balemeddeko abaana baabwe okugenda ku masomero ssaako n’abasomesa okutegeeza nti betegefu okubasomesa, abayizi abato okugenda ku masomero kiyinza okutambuza Covid-19, ekiyinza okuviirako abazadde okufa. Museveni agamba nti abayizi ba nasale balina okudda ku masomero oluvanyuma lwa Gavumenti okufuna eddagala lya Covid-19.

Mungeri y’emu yakkiriza abayizi ku matendekero aga waggulu okuddayo mu March, 2021 kyokka yabasabye okwekuuma obulwadde.

Wabula abazadde bagamba nti abayizi bakooye awaka, Pulezidenti Museveni yandibadde akkiriza abaana bonna okudda ku masomero ate abayizi ba nasale bakuze mu myaka nga tebasobola kubakuumira waka myaka 2.