Abakyala abalenga omukwano mu ggwanga erya Sierra Leone bawanjagidde Gavumenti okubayamba okuyingira mu nsonga zaabwe ku basajja abegumbulidde okuwebuula omulimu gwabwe.

Abakyala banno nga bakulembeddwamu Lady P bagamba nti okutyoboola eddembe lyabwe kweyongedde obungi, omuli okuwambibwa, okuttibwa, okuvumwa ssaako n’abasajja okwagala ebyobwereere.

Mu ggwanga erya Sierra Leone, obwa malaaya bukkirizibwa kyokka bangi ku bannansi, bakitwala nga ekive, omukyala yenna okudda ku luguudo okwerenga.

Olw’embeera eyo, bamalaaya bagamba nti Gavumenti yandibadde ebongera ku nsimbi wakati mu kutambuza emirimu gyabwe okwebezaawo.

Wabula omukulembeze waabwe Lady P agamba nti olw’embeera gye bakoleramu, bangi ku banne begumbulidde okwebaka n’abasajja abasukka mu 3 mu kiro kimu ate emisana basukka 4, olw’okunoonya ensimbi, ekivuddeko endwadde okweyongera.

Lady P agamba nti akulembera abakyala abatunda omukwano wakati 20 kwa 45 nga bangi ku bo bagulibwa wakati ssente 3,000 ku 20,000 eze ggwanga lyabwe.

Ekifaananyi kya BBC