Abasajja 2 abagamba nti bawagizi b’ekibiina ki NUP, basiiba maziga ssaako n’okuvundira mu nju zaabwe nga bagamba nti bawambibwa, abantu abatamanyiddwa era ennaku zebamala nga bawambiddwa, baatulugunyizibwa.

Bano okuli Joseph Nkoyoyo Kyakuwa myaka 23 ssaako Fred Kamya ali mu gy’obukulu 50 nga bonna batuuze ku kyalo Katoogo mu ggoombolola y’e Nama mu Konsituwensi y’e Mukono North, bebali maziga mu kiseera kino.

Bagamba nti baawambibwa nga 22, December, 2020 ne banaabwe 13 mu Kampeyini wakati wa munna NRM era Minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule eyali ku mbiranye ne munna NUP Abdullah Kiwanuka, eyawangudde okulonda.

Fred Kamya
Fred Kamya

Kamya agamba nti nga wayise ennaku 2, yasuulibwa e Kavule mu Monisipaali y’e Nansana nga 24, December, 2020 nga yenna akubiddwa era okuva olwo, atandiise okuvunda ebigere, amaviivi, alumizibwa mu kifuba nga n’ensonga z’amaka, omutaka yagaana okuddamu okuba saluti.

Ate Kyakuwa ku myaka 23, agamba nti oluvanyuma lw’okutwalibwa, yali ne banne okuli Patrick Bagambe, Fred Jjingo, Rashid Kawunda, Sulaiman Kiwanuka ssaako ne Junior Ainebyona.

Wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti abasajja bakuba omuli okumenya emigongo, okugyamu abantu amannyo, okumenya amaggulu era asuubira nti waliwo banaabwe abayinza okuba nga abattibwa.

Kyakuwa One Final

Ku nsonga ezo, ssentebe w’ekyalo Katoogo, Byekwaso Venensio agamba nti bali mu kutya nga abantu bonna abawambibwa, bo ng’abakulembeze tewali yabategezaako.

Ate adduumira Poliisi mu bitundu bye Mukono Abubakar Musiho agamba nti yafunye okuteegezebwa ku nsonga z’abantu okubuzibwawo wabula Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga ezo.