Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Gayaaza mu ggoombolola y’e Butuntumula mu disitulikiti y’e Luweero, omwana myaka 10 bw’afiiridde mu ddaamu ky’amazzi.

Omwana ategerekeseeko erya Ntege, bakedde kugenda ku ddaamu okukima amazzi ng’ali ne banne wabula kigambibwa asirituse n’agwa mu ddaamu era bamugyemu ng’amaze okufa.

Okusinzira ku Kansala we Kakabala, Salim Zimula Sserunkuuma olw’omusana, amazzi gayongedde okubula era Ntege okufa, abadde agezaako okusembera munda mu ddaamu, okutuuka wayinza okusena amazzi.

Kansala Zimula

Ate omuduumizi wa Poliisi mu bitundu bye Luweero Abraham Tukundane, agambye nti bakyalinda alipoota y’abatuuze ssaako n’abazadde ku nfa ya mutabani waabwe.

Agamba nti abatuuze begumbulidde okuziika abantu abafudde mu ngeri bwetyo nga Poliisi tetegeezeddwako.