Okutya kweyongedde mu ggwanga erya South Africa mu kibuga Johannesburg olw’omuwendo gw’abakyala abasobezebwako n’okuttibwa okweyongera.

Alipoota z’ebitongole ebyenjawulo n’okusingira ebirondoola eddembe ly’obuntu, ziraga nti buli ssaawa 3 eziyitawo, waliwo omukyala attibwa.

Mungeri y’emu alipoota ziraga nti abasajja begumbulidde okusobya ku bakyala ssaako n’abaana abawala wabula Poliisi ensonga ezikwata kasoobo okunoonya abantu ng’abo.

Okusinzira kw’alipoota ya Poliisi eya 2019-2020, abantu 21,325 bebattibwa nga abamu ku bo, basobezeddwako.

Kati no, abakyala bagamba nti Gavumenti ekkirize abasajja abakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku bakyala n’okubatta, okuwanikibwa kalaba oba okusibwa amayisa.