Aba famire bakulukuse amaziga ng’abantu baabwe abasukka 30 basindikibwa ku limanda ku misango gy’okutta ebyenyanja ku Lake Victoria.

Abakwate, baasobodde okweyambisa eddagala ly’amazzi okuyuwa mu nnyanja okutta ebyenyanja n’okusingira ddala empuuta, okubikwata nga bifudde eby’okutunda ssaako n’okulya awaka.

Mu kikwekweeto ekyakoleddwa abalwanyisa envuba embi sabiiti ewedde ku Lwokutaano, abakwate baasangiddwa ku kizinga kye Nkose mu ggoombolola y’e Mazinga mu disitulikiti y’e Kalangala.

Enkya ya leero, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kalangala Daniel Kiboko Epobu era bonna 32 basindikiddwa ku limanda mu kkomera lye Mugoye mu ggoombolola y’e Mugoye okutuusa nga 23, omwezi guno Ogwokubiri.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, abakwate baludde nga beyambisa eddagala okutta ebyenyanja eby’okutunda okuva mu December, 2020, ekintu eky’obulabe mu kutta ebyenyanja, obutonde bwensi ssaako n’okutambuza obulwadde.