Okutya kweyongedde eri abatuuze ku kyalo Bishop Mukwaya, e Bwaise I mu bitundu bye Kawempe olw’omutuuze munaabwe okuwambibwa, abasajja abaali mu ngoye ezabuligyo.
Ronald Ssegawa yambibwa, abantu abatamanyiddwa nga bamusaanga ku luguudo lwe Tula ne basalawo okumutulugunya.
Oluvanyuma lw’okutwalibwa, aba famire banoonya omuntu waabwe nga tamanyikiddwako gy’ali kyokka sabiiti ewedde ku Lwomukaaga, baafunye okuteegezebwa nti omuntu waabwe yali asuuliddwa ku ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago.
Okusinzira ku musirikale ku ddwaaliro ekkulu e Mulago agaanye okwatuukiriza amaanya ge, agamba nti ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, abasajja baali 2 nga bali mu ngoye ezabuligyo nga bali mu mmotoka tekuli namba ate nga bonna bambadde obukokolo, ne baggya ekintu mu buutu y’emmotoka nga kiri mu kiveera ne basimbula ne bagenda.
Omusirikale agamba nti, bageenda okwekebejja ekiveera nga mulimu omuntu akyali mulamu, kwe kuyita abasawo ne bamutwala mu ddwaaliro, okutaasa obulamu.
Wabula muganda wa Ssegawa, Frank Kyeyune agamba nti muganda we bamugyeemu enjala, engalo zamenyeddwa, yenna yakubiddwa era mu kiseera kino ali mu mbeera mbi.
Kyeyune agamba nti bakoze buli kimu okuzuula abantu abawaamba muganda we naye tewali kyazuuliddwa newankubadde ye yazuuliddwa.
Kyeyune One
Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango awadde famire amagezi okutwala omusango ku Poliisi kiyambeko Poliisi okwanguyirwa mu kunoonyereza.