Poliisi eyitiddwa okutaasa omukyala abadde asemberedde okuttibwa, olwa bba okumutimpula emiggo mu bitundu bye Deke mu ggwanga erya Zimbabwe.
Omusajja ali mu gy’obukulu 45 agamba nti wakati mu kwekebejja ensawo ya mukyala we, asazeemu obupiira bu galimpitawa, nga tebukyawera.
Omukyala ali mu gy’obukulu 30 wakati mu kulukusa amaziga, asobodde okulagira bba nti wadde musajja alina ku ssente, tamalako nga n’enkumbi, temutuuka bulungi.
Omukyala agamba nti abadde alina okunoonya abasajja abayinza okumusanyuka mu nsonga z’omu kisenge kyokka wakati mu kwekuuma, abadde alina okweyambisa Kondomu.
Wabula akubiddwa nnyo era atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi nga n’omusajja Poliisi emukutte.