Poliisi evuddeyo ku bigambibwa waliwo munnakibiina kya NUP eyatulugunyiziddwa nga mu kiseera kino ali mu mbeera mbi nga yamenyeddwa n’omukono.
Waliwo omuntu agamba nti munnamawulire nga yeeyita Kirya Emmanuel Journalist agamba nti omuwagizi wa NUP Segawa Ronald omutuuze we Mukono yawambibwa mu biseera by’okulonda.
Kirya agamba nti Segawa yatulugunyizibwa, bamugyamu enjala, yakubwa, yasalibwa ebitundu by’omubiri era mu kiseera kino tasobola kwogera wadde okulya ng’ali mu mbeera mbi.


Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga alabudde abantu okukomya okusasaanya amawulire ag’obulimba mu bantu nga bayita ku mikutu migatta bantu.
Enanga agamba nti omukono gw’omwana okutambuzibwa ye Nerima Sandura e Mbale eyagwa ku lwazi bwe yali atambula, namenyeka emikono.
Enanga