Omukyala myaka 36 asindikiddwa mu kkomera emyaka 34 lwa kutta bba.
Molly Angwech omutuuze ku kyalo Okwoto ‘C’ mu ggoombolola y’e Lii mu disitulikiti y’e Nwoya asingisiddwa omusango gy’okutta Richard Oyom nga 11, September, 2018.
Kkooti ebadde ekubirizibwa omulamuzi Stephen Mubiru egamba nti omukyala Angwech ng’ayambibwako mutabani we omukulu Oscar Obal batta Oyom bwe yali akyuse okuva mu katale okudda awaka nga yakubwa ekintu ekitamanyiddwa.
Alipoota z’abasawo ziraga nti omusajja yafa olw’omusaayi okwetugga mu kifuba.
Oludda oluwaabi lugamba nti Angwech yali alina obutakaanya ne bba era y’emu ku nsonga lwaki yamutta.
Omulamuzi Mubiru agambye nti Angwech yamenya obwesigwa bwa bba ng’omukyala omufumbo nga yakola nsobi okumutta era y’emu ku nsonga lwaki asibiddwa emyaka 34 n’emyezi 7