Bya Nakaayi Rashidah

Kkooti ensukulumu erangiridde nga 18 omwezi gujja Ogwokusatu, okuwa ensala yaayo ku musango gwa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), gwe yatwala mu kkooti ng’awakanya ebyava mu kulonda gw’omukulembeze w’eggwanga.

Enkya ya leero, enjuyi zonna eziri musango zikedde kutuula, okukaanya ku ntambuza y’omusango wabula munnamateeka wa Kyagulanyi Medard Lubega Segona aloopedde abalamuzi nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo nti bakyalinze ebiwandiiko ebimu okuva mu kakiiko k’ebyokulonda ng’abantu abamu abalina okuwa obujulizi bawambibwa.

Amangu ddala kkooti, erangiridde nga 14, omwezi guno Ogwokubiri, bannamateeka ba NUP okuteekawo obujjulizi baabwe mu buwandiike, aba NRM bakuteekawo nga 20 omwezi guno.

Ate nga 23, omwezi guno, okwemulugunya ku bujulizi okuva ku njuyi zombi, nga 24, kkooti yekeneenya obujjulizi ku njuyi zonna, olwo nga okuva 25 okutuusa 26, omwezi guno abajulizi okwongera okutaanya n’okukaatiriza obujjulizi baabwe.

Oluvanyuma kkooti yakuwa ensala yaayo nga 18, March, 2021.

Mu kkooti, Ssaabalamuzi Owiny-Dollo akuutidde bannamaeeka ku njuyi zonna okwewa ekitiibwa n’okusosowaza eggwanga lyabwe ku buli nsonga yonna, etwaliddwa mu kkooti.

Kyagulanyi yaduukidde mu kkooti okuwakanya ebyava mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga lino nga 14, Omwezi oguwedde ogwa Janwali, okwawangulwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni era yawadde ensonga ez’enjawulo omuli ebitongole ebikuuma ddembe okweyingiza mu nsonga z’ebyokulonda, okumulemesa okuba Kampeyini mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, okutyoboola eddembe ly’obuntu, okusiba abantu be ssaako n’ensonga endala ng’asaba kkooti okusazaamu obuwanguzi bwa Museveni.