Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo ayanirizza emunyenye ya Uganda, nnantameggwa w’embiro empanvu mu nsi yonna Joshua Cheptegei oluvanyuma lw’okulondebwa ku bwa Ambasada w’ekitongole ky’ebyobulambuzi ekya Uganda Tourism Board.

Cheptegei ne Kenzo kati bali ku mulimu gw’okutunda Uganda mu nsi yonna nga beyambisa eby’obulambuzi.

Joshua Cheptegei
Joshua Cheptegei

Oluvanyuma lw’okulagibwa eri bannamawulire, Cheptegei yalinyiddewo ennyonyi okugenda mu ggwanga erya Bufaransa mu kibuga Monaco okwetaba mu mpaka za Monaco 5km ku Ssande nga 14, February, 2021.

Mu kwogerako eri bannamawulire, Cheptegei yasuubiza okukola obulungi omulimu gwe, okutuuka eggwanga lye mu nsi yonna.

Kenzo ne Minisita Kiwanda omubeezi ow'ebyobulambuzi
Kenzo ne Minisita Kiwanda omubeezi ow’ebyobulambuzi

Wabula Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okuyozayoza Cheptegei okulondebwa era yamwaniriza ku ttiimu yaabwe nga ba Ambasadda. Kenzo yasabye Cheptegei okukola obulungi omulimu gwabwe ogw’okutunda Uganda, “Congratulations my brother Joshua Cheptegei and welcome to the team. Let’s do it even bigger“.

Kenzo abadde Ambasadda w’ebyobulambuzi okuva nga 01/09/2020.