Abatuuze ku kyalo Kitari cell mu disitulikiti y’e Rubanda bawuninkiridde, olwa ssemaka okutta omukyala we, omulambo nagweziikira.

Ssemaka Dismus Muhumuza aludde ng’alumiriza mukyala we Alibina Tusimomwe obwenzi ng’ayagala muganda we Viani Turyahebwa.

Olw’obusungu, akutte ejjambiya natematema mukyala we namutta, muganda we gw’alumiriza okwagala mukyala we naye amutemyetemye era atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kabale ng’ali mu mbeera mbi.

Wabula abatuuze oluvanyuma lw’okunoonyereza, omukyala azuuliddwa nga yaziikiddwa mu ntaana emanju w’ennyumba nga waliwo entaana ey’okubiri eyabadde ey’okuziikamu Viani omusiguze.

Abatuuze bakoze effujjo ne bookya enju 5 eza baganda b’omusajja olw’okutta omukyala, ekiwaliriza Poliisi okubiyingiramu.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agambye nti ssemaka Muhumuza aliira ku nsiko mu kiseera kino kyokka aguddwako emisango gy’obutemu.