Omuyimbi Lydia Jazmine azzeemu okufulumya oluyimba lw’omukwano era abamu ku bawagizi be bagamba nti ayinza kuba kati naye ali mu laavu ne kabiite we era essaawa yonna ayinza okuvaayo mu lwatu.

Jazmine wadde talina musajja yenna amanyikiddwa, y’omu ku bayimbi abakyala abalemeddeko mu kuyimba ennyimba z’omukwano era abamu ku bawagizi be bagamba nti, yasalawo okweyambisa ennyimba okususuuta bba mu nkukutu.

Mu ngeri y’okulaga nti atageera ensonga z’omukwano, Jazmine afulumizza oluyimba ‘I Love You Bae’. era mu luyimba agamba nti kyaddaki akkiriza okutwala kabiite we mu buliri.

Waliwo ebigambo ebyali byogera nti Jazmine ali mu laavu ne Fik Fameica kyokka tewali muntu yenna alina bukakafu.

Oluyimba lwa Jazmine