Bya Nakaayi Rashidah

Amaziga gakulukuse famire z’abantu abaakwatibwa bannakibiina kya NUP, abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), abaziddwa ku Limanda mu kkomera e Kigo ssaako ne Kitalya ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri amenya amateeka.

Abavunaanibwa abali 49 era sabiti ewedde, kkooti y’amaggye yayimbuddeko abantu 13 kyokka enkya ya leero, bonna abaasigadde mu kkomera 36 omuli Edward Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, omuyimbi Bukeni Ali amanyikiddwa nga Nubian Li bonna baziddwa ku Limanda.

Eddy Mutwe nga bamutuusa ku kkooti
Eddy Mutwe nga bamutuusa ku kkooti

Abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu ssentebe wa kkooti Lt.Gen.Andrew Gutti bagobye okusaba kwabwe okweyimirirwa era kkooti egambye nti singa bayimbulwa, bayinza okutabangula ekibuga Kampala.

Guti agambye nti omusango gulina okugenda mu maaso kyokka alemeddwa okuteekawo olunnaku Omusango lwe gulina okuddamu.

Lt.Gen.Andrew Gutti
Lt.Gen.Andrew Gutti

Eddy Mutwe, Nubian ne banne babakwatira Kalangala mu December wa 2020 wakati mu Kampeyini z’okunoonya obuwagizi bwa Kyagulanyi eyali yesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga ne baggulwako emisango egy’enjawulo mu kkooti e Masaka, eyabakkiriza okubeeyimirira kyokka amagye ne gaddamu ne gabakwata.

Kkooti y’amagye yabasomera emisangi okuli okusangibwa n’amasasi 3, Janwali, 2021 mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu e Kawempe ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka.

Oluvudde mu kkooti bannamateeka ba bavunaanibwa 4 nga bakulembeddwamu George Musisi, bagambye nti bagenda kuddukira mu kkooti enkulu okuwakanya ebisaliddwako kkooti y’amaggye kuba tewali nsonga yonna yassimba ewereddwa lwaki bagaanye okuyimbula abantu baabwe.