Poliisi e Kamuli ekoze ekikwekweeto mwekwatidde abantu 22 abaludde nga benyigira mu kutambuza ebicupuli bya ddoola mu disitulikiti y’e Kamuli.
Abakwattiddwa begatira mu kibiina kyabwe ekya “Money Bags Crew” era ekitebe kyabwe, kisangibwa mu tawuni Kanso y’e Nawanyago era baludde nga batigomya abalimi, abatwala ssente mu Bbanka abegomba okukwata ku ddoola.
Akabinja k’abantu abatambuza ebucupuli, kalina abantu ab’enjawulo e Jinja, Kamuli ne Luuka era abasinga obungi bakwattiddwa.
Henry Mudumba, omu ku batuuze abali maziga mu Katawuni k’e Kasambira, agamba nti yaweereddwa, ebicupuli bya ddoola obukadde 4 oluvanyuma lw’okutunda ebikajjo.
Wabula adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kamuli Ahmed Madiri, agamba nti abakwattiddwa, abamu benyigira mu kuteeka emisanvu mu kkubo ne banyaga abantu omuli okutwala amassimu, ensawo z’abakyala, ssente era Poliisi etandiise okunoonyereza.