Bya Zainab Ali

Bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) balangiridde okusimbira ekkuli ekya Palamenti okweyongeza emyaka gy’ekisanja okuva kwe 5 okudda ku 7.

Mu Palamenti ebbago lyatuuse dda, okweyongeza emyaka okudda 7 era bangi bagamba nti singa kikolebwa, kigenda kuyamba nnyo, okuwereza obulungi abalonzi baabwe.

Kati no, bannakibiina kya FDC nga bakulembeddwamu amyuka omuwandiisi w’ekibiina, Harold Kaija bagamba nti bo ng’ekibiina, bagenda kukisimbira ekkuli era n’abakiise ba Palamenti ku kaadi y’ekibiina kyabwe, basabiddwa obutakiwagira.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, Kaija agamba nti ebigenda mu maaso mu Palamenti biraga nti Palamenti y’eggwanga esukkiridde omululu.

Kaija ku Myaka

Kinnajjukirwa nti mu 2017 ebbago ku nsonga y’emyaka yatuuka mu Palamenti era ensonga zagwera mu kkooti ensukulumu, eyalemesa emyaka 7 kyokka nekkiriza eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna eyegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga.

Abalamuzi ba kkooti eyatuula e Mbale mu Gwomusanvu, 2018 bategeeza nti ababaka abaali basukkiridde okulaga omululu n’okweyagaliza era y’emu ku nsonga lwaki eky’emyaka 7 bakigoba.

Abalamuzi baawa Palamenti amagezi, nti ku nsonga y’okweyongeza emyaka 2 okuva kwe 5 okudda 7, balina okutekateeka akalulu k’ekikungo abantu bonna okusalawo ku nsonga eyo.

Palamenti esuubirwa okuteesa ku nsonga ezo, n’okutandiika akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu.