Poliisi mu Kampala yakutte abantu abasukka 70 abaasangiddwa nga bali mu kunywa mu bbaala mu ssaawa za Kafyu, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo wakati mu kujjaguza olunnaku lwa bagaalana.
Poliisi egamba nti mu kikwekweeto mu bbaala ez’enjawulo mu bitundu bye Kireka yakutte abantu abasukka 50 nga bangi wakati mu kweraga Omukwano, eby’okudda awaka babivuddeko ne badda mu kunywa.
Ate Poliisi y’e Katwe, yakutte abasukka 20 nga bangi baasangiddwa batambula mu ssaawa za Kafyu ate nga batamidde.
Wabula akulira ebikwekweeto mu kitongole ekya Poliisi Edward Ochom, asuubiza okusiba abasirikale bonna omuli ne bannamaggye abekobaana ne bakkiriza ebbaala ezimu okusigala nga zikola ne bakkiriza okuziwa obukuumi ssaako n’okuleka abantu abamu, okusigala nga batambula mu ssaawa za Kafyu.