Pulezidenti w’ekiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde nti singa kkooti ensukkulumu ebalemesa okugatta bujjulizi bwabwe ku musango gw’okuwakanya obuwanguzi bwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga, betegefu okuggya omusango mu kkooti.

Kyagulanyi agamba nti kkooti yagobye obujjulizi bwabwe 130 obwatwaliddwayo, olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga yekwasa nti nsalesale yaweddeko ku Ssande ku Valentayine nga 14 omwezi guno, nga mu kkooti basigazaayo obujjulizi 35 bwokka obwatwalibwayo ku Ssande.


Wabula mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya NUP e Kamwokya, agamba nti ebigenda mu maaso mu kkooti, biraga nti abalamuzi basukkiridde okubaamu kyekubira mu kutambuza omusango era singa banagaana obujjulizi bwabwe, betegese okuggyayo omusango gwabwe.

Kyagulanyi agamba nti Ssaabalamuzi Alphonso Owinyi-Dollo omulamuzi Ezekiel Muhanguzi ne Mike Chibita balina okweyambisa akaseera kano okulaga nti emirimu gyabwe gitambulira mateeka newankubadde tayinza kubesiga.

Bobi Wine

Ate ku nsonga ya bannayuganda abazze bakwattibwa, Kyagulanyi avumiridde eky’ebitongole ebikuuma ddembe okweyongera okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Agamba ensonga bagenda kuzongerayo eri ekibiina ky’amawanga amagatte eri offiisi ekola ku nsonga z’eddembe ly’obuntu.