Omukyala abadde akyangakyanga abasajja akwattiddwa ku misango gy’okutta omwana omulenzi gw’abadde yakazaala e Nabweru mu Monicipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.
Sarah Nanteza akwattiddwa ku by’okutta omwana we abadde awezeza olunnaku, nga yamunyodde ensingo namutta oluvanyuma omulambo yagusuula mu kabuyonjo.
Ku Poliisi, Nanteza agamba nti omusajja abadde alemereddwa okumuwa obuyambi ate nga yafunye omwana ng’abadde alina okumutta, okusobola okutambuza obulamu.
Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, okunoonyereza kulaga nti Nanteza abadde alina abasajja 2 okuli abeera wano mu Uganda eyabadde amuzaddemu omwana ssaako n’omulala abadde abeera mu kibuga Dubai.
Poliisi egamba nti Nanteza olw’afunye amawulire nti muganzi we akomawo okuva e Dubai, yasse omwana we, muganzi we ageende okutuuka mu Uganda, nga tewali kabonero kalaga nti abadde lubuto.
Nanteza aguddwako emisango gy’okutta omuntu nga atwaliddwa ku Poliisi y’e Nabweru nga n’omulambo gw’omwana ogugiddwa mu kabuyonjo, gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago.