Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kyetume mu ggoombolola y’e Lwengo ssemaka, omusuubuzi mu kutunda ente Sheik Ahmed Kasumba myaka 60 bw’attiddwa mu ngeri ewuninkiriza abatuuze.

Okusinzira ku batuuze, baawulidde okulwanagana mu nnyumba ekiro, era bageenze okutuuka okutaakiriza, amaaso gatuukidde ku mulambo gwa Kasumba wakati mu kitaba ky’omusaayi ng’atemeddwa ku mutwe, obulago, ekifuba, era amangu ddala Poliisi yayitiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Muhammad Nsubuga, Poliisi ekutte abantu 3 okuli mukyala w’omugenzi Sophia Kobusingye, muwala we Fazirah Namatovu ssaako n’omulaalo ategerekeseeko erya Muzeeyi ku misango gy’obutemu.

Kigambibwa Kasumba yattiddwa nga beyambisa embazzi era abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Lwengo okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Nsubuga agamba nti ebiriwo biraga nti ssemaka Kasumba yattiddwa mukyala we oluvanyuma lw’okutekateeka okuwasa omukyala omulala.