Akakiiko k’amaggye ak’empisa akabadde kakubirizibwa Lt Col Gai Mpandwa kasindise mu kkomera bannamaggye 7 aba miritale Poliisi abasiwuuse empisa ne batimpula bannamawulire emiggo nga bali ku mirimu gyabwe olunnaku olw’eggulo.

Abaakubiddwa bakedde kukwata mawulire nga Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, atwala okwemulugunya kwe ku nsonga y’okutyoboola eddembe ly’obuntu mu offiisi ekola ku nsonga ezo mu kibiina ky’amawanga amagate e Kololo.

Wabula Poliisi yakkirizaako, Kyagulanyi, omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, ssaako n’omuwandiisi w’ekibiina Lewis Lubongoya okuyingira munda era abaasigadde ebweru okuli bannakibiina kya NUP ssaako ne bannamawulire okulinda abaagenze munda , balabiddawo ng’amaggye ga Miritale gayingiddewo.

Bannamaggye nga bakutte embukuuli z’emiggo, bakubye buli muntu, era bannamawulire baasigadde mu maziga olw’emiggo egyabakubiddwa.

Ku baakubiddwa kuliko bakozi bannaffe wano Nakaayi Rashidah, Nalule Aminah, John Cliff Wamala owa NTV, Josephine Namakumbi ne Joseph Sabiti aba NBS n’abalala.

Wabula amyuka omwogezi w’amaggye Lt. Col Deo Akiiki, agambye nti bannamaggye bonna 7, basindikiddwa mu kkomera ly’amaggye e Makindye okusibwa wakati w’ennaku 60 ku 90.

Abasindikiddwa mu kkomera kuliko Capt Jessy Odwenyi, Cpl Nimusiima Justine, Pte Wasswa Peter, Pte Tsame Imran, Pte Kisakye Victoria, Pte Opiyo Isaac ne L/cpl Zirimenya Kassim.

Capt Odwenyi asibiddwa ennaku 90, L/cpl Zirimenya Kassim ennaku 60, Pte Kisakye Victoria ne Pte Opiyo Isaac wakati we nnaku 60 ku 62.

Ate enkya ya leero, omuduumizi w’amaggye mu ggwanga Gen. David Muhoozi mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’amaggye e Mbuya yeetondedde bannamawulire abaakubiddwa era asuubiza nti amaggye gagenda ku bajanjaba.

Mungeri y’emu yasuubiza nti abasirikale bonna abenyigidde mu kutimpula bannamawulire emiggo bagenda kuvunaanibwa ssaako n’okutendekebwa ku ngeri y’okukolagana ne bannamawulire.