Loyce Tihainomwangire asindikiddwa ku limanda mu kkomera lye Nyamushekyera ku misango gy’obutemu.
Tihainomwangire enkya ya leero asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Bushenyi John Paul Osauro ku misango gy’okutta muganzi we Allan Mandela eyali munnamawulire ku Hunter FM mu pulogulamu y’ebyemizannyo.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Sylus Bwambale, nga 12th, February 2021, ku kyalo Kitwe mu Tawuni Kanso y’e Rwentuha mu disitulikiti y’e Bushenyi, Tihainomwagire yatta Allan Mandela era omulambo gwasangibwa mu nnyumba.
Bwambale ategezezza kkooti nti bakyanoonyereza, ekiwaliriza omulamuzi okwongezaayo omusango n’okusindika Tihainomwangire ku limanda okutuusa nga 19, March, 2021.
Tihainomwangire nga mukozi ku B FM kigambibwa yakubira Poliisi essimu okuyambibwa era yategeeza nti muganzi we Mandela yali amukuba wabula Poliisi yageenda okutuuka ng’amaze okumutta.
Okuva nga 12th February 2021, Tihainomwangire abadde ku kitebe kya Poliisi e Bushenyi.