Poliisi y’e Kabale ekutte taata ku misango gy’okusobya n’okuwasa omwana we, myaka 10 omwana gwe yeezaalira.

Taata Gerevazio Tiryambwenu ali mu gy’obukulu 60 nga mutuuze ku kyalo Rwamukundi mu Monicipaali y’e Kabale yakwattiddwa.

Okusinzira ku Poliisi, omwana yafunye okulumizibwa mu lubuto, taata kwe kumutwala mu ddwaaliro lye Rugarama okumuteeka ku “Family Planning” era bagenze okumwekebejja ng’atandise okuvunda ebitundu by’ekyama nga n’okumuggyako omusaayi nga kitaawe yamusiiga dda siriimu.

Okunoonyereza kulaga nti taata, omwana abadde yamufuula mukyala we oluvanyuma lw’omukyala azaala abaana Gloria Tumwebaze okunoba emyaka egisukka 4.

Taata abadde yasuubiza omwana okumutta singa ategezaako omuntu yenna nti abadde asobezebwako.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti okunoonyereza kutandikiddewo.

Elly Maate